1 Samuel 4:11-18

11 aEssanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.

Okufa Kwa Eri

12 bOlunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 13 cBwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe.

14Eri bwe yawulira oluyoogaano n’abuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?”

Omusajja n’ayanguwa n’atuuka awaali Eri n’amutegeeza.
15 dEri yali aweza emyaka egy’obukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga n’okulaba takyalaba. 16Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.”

Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?”
17Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”

18 eOlwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.

Copyright information for LugEEEE